
Derrick Kalani, omusawo okuva ku ‘Same day family and children’s clinic’ Entebbe, ayongedde okutangaaza ku bulwadde obumanyiddwa nga Monkey Pox era n’atottola engeri gyebukwatamu.
Ono agamba nti obulwadde buno busobola okusaasaana singa omuntu akwatagana butereevu n’omuntu alina akawuka oba okuyita mu matondo agalina akawuka. Obulwadde buno busangibwa mu bitundu by’ebibira mu East, Central, ne West Africa, nga kati bwalangiriddwa mu mawanga ag’enjawulo nga Uganda mw’ogitwalidde.
Gyebuvuddeko, ekitongole ky’ensi yonna ekikwasaganya eby’obulamu ekimanyiddwa nga World Health Organisation (WHO) kyalangirira nga bwewaali wabaluseewo ekirwadde kya Monkey Pox naddala mu mawanga agali ku Ssemazinga Africa. Obulwadde buno, bw’ebumu ku obwo obukwata abantu nga buva ku bisolo.

Okusinziira ku dokita (Dr) Kalani, obulwdde bwa Monkey Pox (Mpox) buleetawo obubonero bw’okusiyibwa kw’olususu singa bubeera bukutte omuntu, okulumwa ennyo omutwe, omusujja, okulumwa omugongo, ebinywa, obunafu n’okuzimba enywanto z’omusaayi.
Ku lw’okutaano lwa wiiki ewedde, Uganda yalangirirwamu obulwadde buno oluvanyuma lw’abantu babiri okusangibwa mu bitundu by’eKasese (mu bugwanjuba bw’eggwanga) nga babulina. Wabula minisitule y’ebyobulamu oluvanyuma yavuddeyo n’etegeeza nti abantu ababiri (2) abaasangibwa n’obulwadde buno, baamala dda okujanjabibwa nebawona era nebasiibulwa ne mu ddwaliro.
Uganda kati eteekebwa ku mwanjo, mu mawanga ag’egulidde erinnya mu kulwanyisa endwadde zi nnamutta. Kino kyeyoleka gyebuvuddeko bweyasobola okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19 ekyagulumbye ensi yonna, nga kw’otadde n’endwadde endala nga Ebola ne Marburg.